Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 148 listening Simba FM Live

Entambula eyolukale yakutandika nga mufunye mask – Fred Enanga

May 19, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo; “Olukiiko lw’ebyokwerinda lutwala omukisa guno okusiima ekiragiro eky’okwambala mask ezobuwaze eri buli omu mukulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 nga tuva mu ‘lockdown’. Tuli basanyufu nti Gavumenti yeyamye okuwa abantu masks zino kubwereere eri Bannayuganda.
Zino zakutwalibwa eri ba Ssentebe ba LC nga 2-June-2020 terunayita, olwo emirimu omuli; wooteeri, n’amadduuka agebintu ebirala gali ebweru wa malls ne arcade gakuggulawo. Gavumenti era yakirizza amasomero n’amatendekero agalina abayizi abalina okutuula ebigezo ebyakamalirizo okuggulawo wamu n’entambula ey’olukale okutandika okukola.
Wabula bino byonna byakutandika okukola nga okugaba masks eri Bannanyuganda bonna kuwedde. Ab’ebyokwerinda bonna balagiddwa okuteeka ekiragiro kino mu nkola wamu n’okusomesa abantu ku buzibu obuyiza okutuukako nga toyambadde mask n’ekibonerezo kyoyinza okufuna olwobutajambala.