BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live
News

Akakiiko ka Presidential Affairs kaagala Baminisita 3 bebaba bavunaanibwa ku by’amabaati

Akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga zobwa Pulezidenti akakola kukunoonyereza ku nsonga z’amabaati g’e Karamoja kavuddeyo nekawa alipoota yaako mwekaweeredde ebiteeso byako nga kagamba nti ku Baminisita 15, 3 bokka bebaba bavunaana.
Akakiiko kano kateekebwawo Sipiika Anita Among nga era naye yagabana ku mabaati gano nga yaweebwa amabaati 500. Akakiiko kateesezza nti Among eyazzaayo amabaati agamuweebwa alina okwetondera abantu b’e Karamoja ne Yuganda yonna okutwalira awamu era azzeeyo amabaati gano.
Omumyuuka wa Pulezidenti Jessica Alupo, Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, 1st Deputy Prime Minister @Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ne Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija.
Abalala kuliko; Government Chief Whip Hamson Dennis Obua, Baminisita; Fred Bwino (Agriculture); Rukia Nakaddama (3rd Deputy Prime Minister); Rose Akello Lily (Ethics and Integrity) ne Joyce Kaducu (Education).
Ms Jenipher Namuyangu (Bunyoro), Jacob Oboth Oboth (Defence), Agnes Kirabo (Youth), Judith Nabakooba (Lands), Esther Anyakun (Disaster Preparedness) neHenry Musasizi (Finance) bano bateesa bbo baleme kuvunaanibwa. Akakiiko kagamba nti bano bazzeeyo amabaati gebafuna era betondere abantu b’e Karamoja ne Bannayuganda.
Akakiiko akakubirizibwa Jessica Ababiku kateesezza nti Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kittutu n’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga ze Karamoja, Agnes Nandutu bbo bavunaanibwe emisango okuli; okulya enguzi, okuviirako eggwanga okufiirizibwa ensimbi wamu n’okukozesa obubi offiisi.
Minisita Amos Lugoloobi wamu ne James Abaho ngono Senior Assistant Secretary era omuyambi wa Minisita Kittutu nabo balina okuvunaanibwa.
Engeri amabaati gyegagabanibwamu; VP Jessica Alupo (500 pieces); Speaker Among (500); Rose Lily Akello (800); Matia Kasaija (300); Kadaga (500); Nabakooba (300); Musasizi (200); Obua (300); Anyakun (5,300), Kirabo (200); Oboth Oboth (300); Namuyangu (300); Kaducu, Nakadama (300 each).

Leave a Reply