Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 325 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Bannamawulire ababagobedde ebweru ku Kkooti y’amaggye e Makindye

February 19, 2024 · Mubiru Ali
Bannamawulire ababadde bagenze okusaka amawulire ku Kkooti y’amaggye etudde e Makindye ngewulira okusaba kwa Bannakibiina kya National Unity Platform 28 okwokweyimirirwa babafulumizza wabweru wa ggeeti enkya yaleero.
Kkooti ngekubirizibwa Brig. Gen. Freeman Mugabe tewadde nsonga lwaki bano ebafulumizza. Kinajjukirwa nti bano bakwatibwa mu December 2020 mu kunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti nga babadde ku alimanda ku bigambibwa nti basangibwa ne bbomu enkolerere 132 era nga okusaba kwabwe okwokweyimirirwa kuzze kugobebwa nga Kkooti egamba nti bebaba baleese okubeyimirira tebaba nabisaanyizo, bano omwaka oguwedde baggulwako omusango omulala ogwokugezaako okulya mu nsi yaabwe olukwe.