Akakiiko ka Palamenti kakunyizza ED w’eddwaliro ly’e Mulago

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu aka Health Committee nga kakubirizibwa omumyuuka wa Ssentebe, Hon. Joel Ssebikali Yoweri asabye Executive Director w’Eddwaliro ly’e Mulago Dr. Byarugaba Baterana okuleetera akakiiko kano ebiwandiiko ebiraga endagaano eyakolebwa wakati w’eddwaliro ne First Pharmacy awamu ne Ecopharm okukolera mu Ddwaliro munda nga zabwannannyini.
Mukwanukula Dr. Byarugaba ategeezezza akakiiko nti First Pharmacy ne Ecopharm Pharmacy zabwannannyini wabula ezitunda eddagala ery’enjawulo ‘specialized’ eri abalwadde ababeera bazze mu Ddwaliro e Mulago nti era kino zikikolera mu mateeka.
Share.

Leave A Reply