97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Agambibwa okukuba Ssaabaminisita Nabbanja oluyi asindikiddwa ku alimanda

Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM eyawangula okukwatira NRM bendera ku kifo ky’Omubaka wa Bugangaizi East Constituency Onesmus Twinamasiko eyakuba Ssaabaminisita @Robinah Nabbanja oluyi nvamumba yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ye Kibaale Nazifah Namayanja navunaanibwa emisango okuli ogwokukuba wamu nokulumya omuntu.
Twinamasiko yegaanye omusango era nasindikibwa ku alimanda mu Kibaale Government Prison okutuusa nga 10. Kigambibwa nti nga 17 July 2025, bwebaali balangirira ebyava mu kamyuufu ka NRM e Kakumiro ku offiisi za NRM waliwo akanyoolagano era Twinamasiko nakuba Ssaabaminisita oluyi mu maaso g’abantu wamu n’abebyokwerinda.
Bya Christina Nabatanzi

Leave a Reply