Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 254 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Ddereeva w’omulamuzi eyemulugunyizza ku musaala akwatiddwa

May 16, 2023 · Mubiru Ali
Uganda Police Force ekutte Ddereeva w’omu ku balamuzi ba Kkooti Eenkulu e Mbale, Stanley Kisambira ngo yavaayo nakola akatambi nga yemulugunya ku musaala omutono gwafuna ng’ ate bakamabe bafuna buwanana.
Ono okukwatibwa kidiridde obutambi bw’amaloboozi bweyekutte ng’alaga nti okuva mwaka gwa 2008 afuna emitwalo abiri (200,000) ekintu ky’akooye.
Mu butambi bwebumu ono alaze ng’obulamu bwa bakama baabwe bwebubeera mu mikono gyabwe nga singa bekyawa akabi kasobola okutuukawo.
Wabula omwogezi w’Ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani avuddeyo nategeeza nti ddala kituufu ba Ddereeva bano mu Kitongole Ekiramuzi, nga ba Ddereeva abalala mu Minisitule endala bafuna omusaala gwa mitwalo 237,000/=.