Abebyokwerinda bakubeera waggulu ku arcade – SP Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti bakoze okwekeneenya kwa vidiyo ezakwatibwa kkamera enkettabikolwa kwebyo ebyaliwo nga November 2020 nebakizuula nti abaali bakulira okwekalakaasa bali waggulu ku bizimbe bya arcade. Bakozesa ebifo bino okulaba entambula yabebyokwerinda. Mu naku ntono eziyise abebyokwerinda abaali balawuna bakubwa amayinja agaali gava ku kizimbe kya Nabukeera Auto Parts Arcade.
Nga 11-1-2021 ku ssaawa nga kumi nabbiri n’ekitundu ez’olweggulo ewa Kisekka, ku luguudo Kyaggwe , abebyokwerinda abaali balawuna ku bigere bakubwa amayinja bwebetegerezza nebakizula nti waliwo eyabadde waggulu ku Arcade emu ngalina akasaale kabatunuzaamu. Mu kwetaasa nebamukuba amasasi nalumizibwa wabula oluvannyuma nafiira mu Ddwaliro e Mulago.
Ono yategeerekese nti ye Mukiibi Elijah era ekizibiti kya kasaale kyazuuliddwa nekitwalibwa ku CPS mu Kampala.
Poliisi egamba nti abebyokwerinda basazeewo mu lukiiko lwebabaddemu n’abasuubuzi wamu ne Bannanyini arcade okusobola okukuuma bizineesi zaabwe, ebizimbe, abasuubuzi, bakasitoma wamu nabebyokwerinda ebadde ku CPS nga ebaddemu adduumira Poliisi mu Kampala nemiriraano CP Moses Kafeero, Commander Military Police Col. Keith Katungi n’abalala. Basazeewo nti:
1. Abebyikwerinda beddizza emyaliiro gyebizimbe bya arcade egyawaggulu n’ebizimbi ebirala ebiwanvu mu Kampala n’emiriraano.
2. Abebyokwerinda bakuvunaanyizibwa ku ani atuuka ku myaliro eggyawaggulu era abasirikale abli mu byambalo bokka bebajja okukirizibwa.
3. Abatembeeyi tebajja kukirizibwa kuyingira mu arcade.

windows 10 pro

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply