OMUSIRIKALE AKUBYE OWA BOODA BOODA ESSASI ERIMUTIDDEWO

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abatuuze be Bunyangabu mu Disitulikiti y’e Kabarole baguddemu ekikangabwa, omusirikale wa UPDF bweyakubye omuvuzi wa booda booda essasi eryamutiddewo oluvannyuma lwokunyomoola ekiragiro kyobutabuuika Disitulikiti emu okudda mu ndala.
Omugenzi ategeerekese nti John Kugonza Rwahumura 28, nga mutuuze ku kyalo Nyansozi mu ttawuni y’e Mugusu yakubiddwa essasi luvannyuma lwokugaana okuyimirira ku misanvu egyateereddwa e Kibede. Kigambibwa nti bamuyimirizza nagaana natomera omu ku basirikale ba Traffic ekyawalirizza omusirikale okumukuba essasi.
RDC wa Disitulikiti y’e Kabarole Julian Sara, akakasizza kino nategeeza nti omusirikale eyamukubye yakwatiddwa nasaba aba booda booda okugondera ebiragiro ebyateekebwawo.
Share.

Leave A Reply