ABAYIIYA BATUGOBYE MU PAVILION YA YUGANDA KU LUNAKU LWOKWOLESA NTI TULEKE BAMINISITA BATWOGERERE, KU BINTU BYEBATAMANYI BWEBIKOLEBWA!

#EmbooziYaMunnayuganda:
Munnayuganda eyatandikawo ekkolero etonotono eyagenze e Dubai mu mwoleso gwa Expo 2020 Dubai Maxima Nsimenta akunyumiza ekyabadde mu muddaala gwa Yuganda; “Natindigga olugendo okugenda e Dubai okwolesa obuyiiya bwange nebyetukola mu Livara eri ensi yonna. Nagenda n’ekigendererwa ekyokulaga ensi yonna obulungi obuli mu shea tree nakiki kyetukoze okuva mu nsigo zaagwo (nuts).
Nabadde netaaga okulaga ensi nti tusingako ku kukola ebizigo. Nabagambyeko nti nayitibwa aba Uganda Industrial Research Institute ne Uganda Investment Authority okwolesa mu mwoleso guno?
Obuzibu butandika;
Bwebampita nalowooza nti bagenda kunsindikira byemba nina okumanya n’okusuubira mu mwoleso guno, byenetaaga okumanya, Wooteri kwenyinza okulonda, ebyentambula, biki byenetaaga okufuna okutambula n’ebirala. Wabula bino byonna tebyampeebwa wadde nabajjukiza emirundi egiwerako.
Nafundikira nefunidde woteeri nga mpita ku Booking.com, eyo Munnansi wa Nigeria gyeyanzibira. Bwenategeezezza Minisita w’ebyobusuubuzi n’abategesi ababaddewo kyebakoze kwekunsaalira kyokka.
Ebyo nga tubivuddeko, natuuse ku Pavilion ya Yuganda nenesanga nga sirinaawo kifo wenina kwoleseza byenkola so nga nali mbawadde byenina okwolesa. Nze munnansi yekka akola ebintu eyabadde ne catalogue wamu ne magazine ezinnyonyola ku kkampuni yange wamu n’obulungi bwa Shea Butter akoleddwa mu Yuganda!
Nabadde nina kulwana okufuna ekibokisi ekyampeereddwa okutuuzaako ebintu n’oluvannyuma ate mpite mu katemba omulala owokubasaba ebintu byange byenatikka okuva mu Yuganda nga byenina okwolesa.
Olunaku lwa Yuganda olwokwolesa bwerwatuuse, aboolesi abatono ababaddewo nebatutegeeza mu lwattu nti tekatutanda netulinnya mu Pavilion ya Yuganda. Batutegeezezza nti Baminisita bebabadde balina okutwogerera! Kati olwo ebintu byebatamnyi bwebikolebwa babyogereko ki?!
Twabadde tulina kukolera wamu nafe abavubuka tufune omukisa ogwogerera ebintu byaffe byetukoze nga ensi endala bwezaakoze kuba ffe tulina okunyumya olugero luno. Bwebatyo abategesi basazeewo okugoba abayiiya nabakola ebintu nekifundikira nga Yuganda eyolesezza Byabufuzi!
Kati tuli Dubai kwolesa byetukola okusikiriza wamu n’okusisinkana abasigansimbi, Yuganda yo yasazeewo kwolesa byabufuzi nakwogera ku muwendo gwa nsimbi eziyinza okuleetebwa nga nazo zijja kufundikira zibiddwa!
Yuganda emazeemu nnyo amaanyi era wenaviiriddeyo nga njagala nakufuuka Munnansi wa Egypt!
Lwaki Yuganda yo teyigira ku nsi ndala ezikulaakulanya nebalirwana baffe.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply