Abavubuka mulabire ku Bobi Wine mukole emirimu egivaamu ensimbi – Pulezidenti Museveni

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nasaba abavubuka balabire ku Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nga benyigira mu bintu ebikola ensimbi. Bino yabyogeredde lukiiko mweyasisinkanidde abavubuka ba United Nations abegattira mu Coalition for Sustainable Development Goals (SDGs) mu Maka g’obwa Pulezidenti Entebe nga bano bavudde mu bibiina 25 nga bakulembeddwamu H.E Rosa Malango, UN Resident Coordinator mu Uganda.
Pulezidenti Museveni yagambye; “Mwogera ku bintu bibiri mu bigambo bingi nnyo. Mwogera ku bugagga n’emirimu. Mukugezaako okuddamu ebibuuzo bino; obugagga bunavaawa n’emirimu? Manyi ekirina okukolebwa okuvvunuuka bino byombiriri, bino bisangibwa mu makoowe 4; Ebyobulimu nga byakufunamu nsimbi, amakolero, obuweereza, Tekinologiya ne Gavumenti.
Ekizibu kyemulina nti bazadde bammwe bakyakolerera mbuto, balina ettaka n’amazze naye bakolerera kulya kwokka ate nga tebalya bulungi.
Pulezidenti yategeezezza nti mulimu neyebuuza oba naye olwo abeera talina mulimu kuba asobola okutunda amata, amaliba, ennyama, amatooke n’ebirala. Muwala wange ono okuva Otuke asobola okukola ekkolero eryongera omutindo ku mata genfulumizza. Egyo gy’emirimu gyaffe 2. Omuntu omulala yoyo atenyigira mu bulimi oba amakolero – Bobi Wine. Ayimba. Sirya luyimba naye oluuyimba lumpumuza ebirowoozo. Mbeera sirina kyendidde naye ndi musanyufu. Bobi Wine atuwa obuweereza obwokutusanyusa.
Share.

Leave A Reply