Abatuuze basaanyizzaawo ebintu by’ateeberezebwa okutta abantu 4 – Mubende

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ebintu by' ateeberezebwa okutemula abantu bana e Mubende bya bukadde na bukade bwa nsimbi bisaanyiziddwawo abantu abatannategeerekeka. 

Ebintu ebisaanyiziddwawo bya Ssebadduka Juma ow'emyaka 40 nga mutuuze ku kyalo Kyambisi mu Ggombolola y'e Kibalinga e Mubende era nga ono yakwatibwa Police oluvannyuma lw'okuteeberezebwa okubeera nga alina ky'amanyi
ku ttemu eryakolebwa ku bantu abana nga 16, Ntenvu Omwaka guno .

Renza Robert Ssentebe wa LC 1 owekyalo  Kyampisi , Muhumuza mulirwana wa Ssebadduka ne Ssengoba Shaban muganda wa Ssebadduka bategeezezza nti mu bintu bya Ssebadduka ebyasaanyiziddwawo mulimu
ennyumba 3 ezaayokeddwa,  ensuku, ennimiro ya muwogo, Kasooli n' emifaliso ebibalirwamu obukadde no obukadde bwe ensimbi era nga abaakoze kino tebannategeerekeka.

Share.

Leave A Reply