Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,317 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Abantu abali ebweru w’Eggwanga temwerabira buvo bwammwe

February 16, 2025 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ababeera ebweru w’Eggwanga, America, Bulaaya, Asia n’awalala obuteerabira buvo bwabwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga okwogera bino abadde Mbuya mu maka g’omugenzi Owek. Tony Kiyimba Kaggwa, gy’agenze okukubagiza namwandu Eva Kagwa olw’okufiirwa mutabani we Kaggwa Kimera Kagwa eyafiira e Australia gyebuvuddeko.
Katikkiro agamba nti omugenzi Kimera Kagwa mu Australia gy’abadde awangaalira abadde mu kibiina ekikumaakuma abantu ba Kabaka ababeera eyo, ekiraga nti bazadde be baamusigamu ensigo y’okutegeera n’okwagala Obuwangwa bwe.
Katikkiro bw’atyo asaasidde nnyo abooluganda lw’omugenzi olw’okuviibwako munnaabwe mu myaka emito, era abasabidde Katonda abagumye n’omugenzi amulamuze kisa.