AG William Byaruhanga aleese amabago amapya mu by’okulonda

Attorney General William Byaruhanga avuddeyo n’amabago amapya 4 nga gagenderera okuleetawo enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda agaliwo ensangi zino.
Ensonga enkulu eziri mu mabago gano agaleetebwa kuliko:
– Omuntu yenna eyesimbyewo ku lwannamunigina ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga tajjanga kwegatta oba okukola omukago n’ekibiina kyonna eky’ebyobufuzi ekyewandiisa.
– Kkamera n’amasimu tebijja kukirizibwa nga mu kifo awalonderwa.
– Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga ekya Electoral Commission kyekijja okulondanga ebifo awalonderwa.
– Ebibiina byonna eby’obufuzi tebijja kubeera nga namikago nabisinde byonna eby’ebyofuzi.
– Okwesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga ku bwannamunigina, olina okubeera nga wava mu kibiina ky’ebyobufuzi n’ozzaayo kkaadi y’ekibiina ng’ekitono ennyo wayiseewo omwaka mulamba era nga ekibiina kino kyewavaamu kirina okukakasa kino mu buwandiike.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply