Abatuuze abawangalira ku ttaka lya Sango Bay erisangibwa mu Disitulikiti y’e Kyotera nga liwereza ddala Hectares 14000 nga lino lyali lya Sango Bay Sugar Estates Limited basabiddwa okulyamuka mu bwangu okusobozesa okugaziya National Oil Palm Project-NOPP eteekebwa mu nkola Ministry of Agriculture, Animal Industry and Fisheries.
Olukiiko luno lwetabiddwamu Minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Frank Tumwebaze wamu n’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Dr. Sam Mayanja.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.