Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 957 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ekirwadde kya Coronavirus tekinatuuka mu Yuganda – Minisitule

March 2, 2020 · Mubiru Ali

Minisitule y’ebyobulamu erina abagwira 4 betadde mu ddwaliro lya Entebbe Regional Referral Hospital. Bano bagiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga balina obubonero bwassenyiga.

Bano bagiddwako ‘Samples’ nezitwalibwa okukeberebwa ku Uganda Virus Research Institute

(UVRI) era nga ebinavaamu byakutegezebwa abantu bonna.

Minisitule egamba nti mukadde kano ekirwadde kya Coronavirus (COVID-19) tekinatuuka mu ggwanga.

Minisitule y’ebyobulamu ekubiriza Bannayuganda bonna okusigala nga bakkakamu n’okugoberera endagiriro ezabaweereddwa Minisitule era ebakubiriza okutwala abantu abalowoozebwa okubeera ne ssenyiga ku ddwaliro eriri okumpi oba okukuba ku nnamba zino ez’obwereere; 800-203-033 ne 0800-100-066, oba okukubira bano Mr. Atek Kagirita – 0782 909 153, Dr. Allan Muruta- 0772 460 297 ne Dr. Opar Benard – 0772 469 323.