Abasirikale ab’embuto ennene muddeyo musale emibiri – Pulezidenti Suluhu

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti wa Tanzania Samia Suluhu Hassan avuddeyo nalagira Abasirikale ba Poliisi bonna abalina embuto ennene okuddayo mukutendekebwa basale emibiri.
Pulezidenti Suluhu agamba nti Abasirikale ba Poliisi okusobola okukola emirimu gyabwe obulungi tebalina kubeera nambuto nnene. Bino yabyogeredde ku mukolo gwokufulumya abasirikale e Boma Kichaka Miba, mu Tanga.
Pulezidenti Suluhu yategeezezza nti bweyabadde ayita mu nyiriri z’abasirikale yakirabye nti ababadde bakulembera enyiriri basirikale bakulu abalina okuwummula ate nga abalala babadde n’embuto enene nategeeza nti tebalina kubeera mu Poliisi.
Share.

Leave A Reply