Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 110 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

DP kyekibiina ekisingamu demokulasiya mu Uganda – Norbert Mao

April 29, 2025 · Mubiru Ali

Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao avuddeyo nategeeza ng’ekibiina kye bwekisinga ebibiina byonna mu Uganda mu nsonga ya demokulasiya. Ono ategeezezza nga amasiga gonna mu kibiina kino bwegakola obulungi nti era enjawukana eziriwo tezitegeeza nti emirimu tegitambula. Mao alumirizza abamawulire nti bakoze kinene nnyo mukutabangula DP era nabategeeza nti baswadde nnyo. Ono ategeezezza nti omumyuuka we bweyamuwandiikira ku byendagaano abamawulire batambuza olugambo nebitali bituufu mwebabiwandiikira. Agambye nti wabula byonna Bannamawulire byebaali bawaliirira byagwa butaka, era DP ekyaliwo nnyo.
#ffemmwemmweffe