abasibe nabo baagala kwetaba mu kulonda

Abasibe e Luzira basabye Gavumenti ebakkirize okwetaba mu kulonda abakulembeze okubaawo ku mitendera egitali gimu mu Ggwanga nga bagamba nti Kkonsityusoni ebakkiriza okukikola wadde Palamenti ne Gavumenti tebalina kye baakinyegako.

Abasibe era basabye sipiika Rebecca Kadaga okwogeraganya ne Pulezidenti Museveni akkirize okusonyiwa bannaabwe abakaddiye abayimbule  nga bagamba nti ebbanga lye bamazeeyo libamala okukyusa enneeyisa yaabwe.

Bino baabigambye sipiika Rebecca Kadaga eyabadde abatwalidde ebintu eby’okubayisa mu nnaku enkulu.

Ng’oggyeeko e Luzira , Kadaga yagenze mu makomera amalala okugeza e Bufulubi mu disitulikiti y’e Mayuge , Jinja main prison n’e Kigo.

Mu kkomera lya Murchsion Bay e Luzira eyayogedde ku lwa banne, Moses Abahikye yagambye nti abasibe Bannayuganda ng’abalala era beetaaga okuweebwa omukisa okulonda abakulembeze ku mitendera egitali gimu.

N’agamba nti ne bwe baba basingiddwa emisango tekibaggyako kya kuba Bannayuganda  ne yeewunya lwaki Palamenti ensonga eno ekyagisizza kasiriso.

Abasibe mu makomera Kadaga gye yayise beemulugunyizza ku ndya embi, eby’obulamu ebitamatiza, okulwawo okutwalibwa mu kkooti n’ebirala.

E Kigo,  Tom Kawalya, akulira abasibe yagambye nti olumu okubuuliriza ku misango tekukolebwa mu bulungi, n’agamba nti emisango egimu ng’okusobya ku baana gissibwa ku bantu lwa nkaayana za ttaka na kukaayanira bya buggagga mu famire.

Akulira ekkomera ly’abakazi e Kigo,  Juliet Kabami, yagambye nti lyetaaga ekifo awazaalirwa n’okulabirira abaana b’abasibe.

Kadaga yagambye nti ensonga z’abasibe yaziwulirizza era agenda kulaba engeri y’okuzikolako.

Yagambye nti palamenti yakkirizza gavumenti okwongera ku nsimbi z’ewa abasibe nga bakoze emirimu egirina okusasulwa, n’eragira abalamuzi okwongerwako obungi emisango gitambule bulungi era egenda kutunula ku buwanvu bw’ebbanga abasibe lye basibwa naddala nga basangiddwa nga bakaddiye.

N’agamba nti  agenda kutuukirira akakiiko ka palamenti ak’eddembe ly’obuntu okulaba nga katunula mu kwemulugunya kw’abasibe. N’asuubiza okwogera ne Pulezidenti ku nsonga z’okuyimbula abasibe abakaddiye ennyo.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply