Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 993 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Abakozi ba Gavumenti ku Disitulikiti e Lira basindikiddwa mu nkomyo

September 22, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte abakozi ba Disitulikiti y’e Lira kubigambibwa nti bakozesa bubi offiisi zaabwe, okwekobaana okubba wamu n’okwenyigira mu kufulumya ebyapa ku ttaka lya Gavumenti. Bano basimbiddwa mu Kkooti nebasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 28/09/2022.
Bano kuliko; Natural Resources Officer Otuke Pabious, Cartographer Ogwang Joel ngono bweyali akuba ettaka lya Gavumenti yalekayo ekitundu ky’ettaka kwebafulumya ebyapa nabaliwa munaabwe Atoo Rebecca. Ye District surveyor yadduse anoonyezebwa.