Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,436 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Nsaasira abennyumba ya Baryomunsi – LOP Mpuuga

October 26, 2023 · Mubiru Ali
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform, Mathias Mpuuga Nsamba eyakulemberamu eky’ababaka ku ludda oluvuganya okuziira entuula za Palamenti okutuusa nga Gavumenti evuddeyo nebalaga wa abantu baabwe abazze bawambibwa gyebali, olwaleero azzeemu n’alabikako mu Palamenti nakigumizza nti tebakyasobola kuddamu kutuula ne bawuliriza kintu kyonna nga tebamanyi mayitire g’abantu babwe 18 okuli ne John Bosco Kibalama ng’ate Gavumenti yavaayo netegeeza nti yebalina.
Mu ngeri yeemu Mpuuga ayanukudde Minisita avunaanyizibwa ku kulungamya Eggwanga ne tekinologiya, Dr. Chris Baryomunsi eyategeezezza nti ab’oludda oluvuganya babeera mu katemba bw’ategeezezza nti bamugamba nti Baryomunsi ssemaka nti wabula bwaba nga endowooza ye eri ku ddaala eryo so nga yavunaanyizibwa ku kulungamya eggwanga, awo wasabidde Bannayuganda bekaabire.