Abakoze akatambi ka Tik Tok nga bakaalakaala nejjambiya mu Restaurant bakwate
Kampala Metropolitan Police evuddeyo netegeeza nga bweyanoonyerezza ku katambi akabadde katambula ku mikutu gya Socal Media ngakalaga omusajja atiisatiisa ba kkasitoma mu kiriiro ky’emmere ekimu. Poliisi egamba nti bano babadde bakwata katambi ka Tik Tok wabula nga tebeteeseteese bulungi ku Munyonyo Chez Boss Mutoto. Kigambibwa nti Munnansi wa Congo Tokosi Ngoli ne Tik Toker babadde bakwata katambi ka Tik Tok wabula nga tebasoose kutemya ku ba kkasitoma balala. Ngoli yakwatiddwa era naggulwako omusango gwokukaalakaala n’ekissi mu bantu.
Bya James Kamali
#ffemmwemmweffe

