ABABAKA BANNAKIBIINA KYA NUP BAGUDDWAKO EMISANGO GYABUTTEMU

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Munnamateeka Ssaalongo Erias Lukwago avudde nategeeza nga Uganda Police Force e Masaka bw’egudde emisango ebiri ku babaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli Mohammed Ssegiriinya aka Mr. Updates wamu ne Allan Ssewanyana okuli ogwobuttemu wamu nogwokugezaako okutta abantu.
Bateereddwa ku kakalu ka Poliisi wabula nga balina okweyanjula eri Poliisi e Masaka ku ssaawa mukaaga.
Lukwago agamba nti kigambibwa nti bano batta abantu 3 mu kiro ekya 23-August-2021 ku kyalo Ssettaala era nti bagezaako okuttemula omuntu omulala mu kiro ekyo.
Abasirikale abakola ku kunoonyereza 7 nga bakuliddwa Talemwa bebakunyizza Ababaka bano nebabategeeza nti basisinkana mu bifo ebyenjawulo abantu abakwatibwa okuli; Happy Boys e Namasuba, Calender Rest House e Makindye ne ku Kayanja Rest House okuliraana akayanja ka Kabaka.
Share.

Leave A Reply