Aba UYD bakukkulumira ab’oludda oluvuganya Gavumenti olw’okuzzaayo obukadde 29

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abavubuka b'ekibiina kya Uganda Young Democrats (UYD) banenyezza nnyo ababaka mu Palamenti ab'oludda oluvuganya Gavumenti olw'okuzzaayo ssente obukadde 29 ez'abaweereddwa okwebuuza ku balonzi ku ky'ebbago ly'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Charles Wasswa agamba nti kikyamu nnyo okuzzaayo ssente mu Gavumenti ya Museveni era n'ategeeza nti bwekiba nga ababaka baabadde tebalina kyakukozesa ssente zino, waakiri baaliziwadde mubaka munnaabwe owa Munisipaali y'e Mukono Betty Nambooze Bakireke ali ku ndiri nezikola ku kujjanjabwa kwe  okumwetaaza okutwalibwa emitala w'amayanja ayongere okujjanjabwa olw'obuzibu bweyafuna mu kulwanagana mu Palamenti .

 

 

 

Share.

Leave A Reply