3 bafu, 6 basigaddeko kikuba mukono lwa kulya butwa.

Abantu basatu nga bonna bava mu famire emu eya Haji Sulaiman Sajjabbi myaka 83 bafudde lwa kulya butwa  ate abalala mukaaga nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Bino bibadde ku kyalo Kachunga mu ggombolola ye Kachunga ii mu disitulikiti ye Budaka  era nga abafudde be, Eric Zake, Zake Raphael, ne Esther  nga  abadde olubuto.

Obutwa buno baabuliiridde mu mmere awo nebatandika okusesema n’okuddukana.

Leave a Reply