Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 484 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Kkampuni ya GoGo Electric ekoze booda booda z’amasanyalaze

February 28, 2024 · Mubiru Ali

Kkampuni ya GOGO Electric evuddeyo okutaasa Munnayuganda naddala oyo omuvuzi wa booda booda mu kiseera kino ngamafuta gabuseere, bano bakukolera piki piki eyamasanyalaze nga tewetaaga mafuta era nga wetwogerere balina piki piki 1000 eziri ku luguudo ezitambula. Leonard Okech ngono akola nga Client Relations Manager, agamba nti bakyuusa ne piki piki ezibadde ezamafuta nebazifuula eza masanyalaze nga teyetaaga woyiro. Ono ayongerako nti ekigendererwa kyabwe kyakulaba nti abavuzi ba booda booda bongeza ku nfuna yaabwe. Piki piki yaabwe eno etambula kiromita 120 ekitegeeza nti osobola okugenda e Jinja okuva e Kampala nekukomyaawo nga tozzeemu kugikyuusa. Balina ebifo wofunira obuweereza bwabwe mu bitundu ebyenjawulo.
John Bosco (JB) Ggenza ye muvuzi wa booda booda eyasooka okukyuusibwa GoGo agamba nti agifunyeemu ebirungi ebitagambika era emusobozesezza okubaako kyeyekolera. Ono agamba nti piki piki eno yakagivugira emyezi 16, ekekerezza nnyo emirundi 90 ku 100 okusinga ku yamafuta.