BREAKING NEWS
Observer: M23 rebels claim release of over 5,000 Congolese soldiers to Red Cross Observer: Tech without values is dangerous – Alupo Pulse Uganda: Uganda Prisons announce Shs 10 million bounty on wanted warder Pulse Uganda: Police break silence on coach Mike Mutebi disappearance MBU: Rickman’s vehicle reportedly burns to ashes after serious crash East News: Airport Operations Reduce to 42.4% Due to Disruptions in Aviation, Says UCAA Boss East News: Chief Justice Re-appoints Justice Stephen Musota as Chief Inspector of Courts MBU: Jowy Landa: I make millions weekly, only haters call me ‘upcoming’

97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

10 bakwatiddwa ku byokubba ettaka e Gomba

Akakiiko akalwanyisa obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka nga kali wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekyabambega ettuntu lyaleero batutte Ag. Commissioner Mapping and Surveys okuva mu Minisitule y’Ebyettaka, Kakooza Jasper n’abantu abalala 9 mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi ku bigambibwa nti bakozesa olukujjukujju nebakola ebyapa ku kyapa ekikadde ekya Madhvani Group Ltd FRV 60 folio 4, ngettaka lino lisangibwa mu Disitulikiti y’e Gomba.
Bano kuliko;
1. Kakooza Jasper – Ag Comm.Mapping and Surveys.
2.Bassajjangabo Hakim – Senior Assistant Secretary e Kabulasooke, Gomba.
3.Siwuliliza Andrew Sserunkuma – Chairman LC1 ow’e Kyalo Mpogo village.
4. Nakanwagi Gladys- Former secretary Gomba District Land Board.
5.Hajju Kayongo Badru Ismail – Former Chairperson, Gomba District Land Board .
6. Nuwahereza Allan Katakanya-Business Man
7.Mudenyi Gerald- Security Guard
8. Nabimanya David-Security Guard
9. Ssenoga Abdu- Casual labourer ne
10. Kisenyi Harunah – Boda boda rider
Bano n’abalala abakyanoonyezebwa bavunaaniddwa emisango okuli; okukozesa obubi offiisi, okujingirira ebiwandiiko, okufuna ekyapa mu lukujjukujju, okusalimbira mu ttaka eritali lyabwe, okwonoona ebirime wamu n’okwekobaana okuzza omusango.
Basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 30 April 2025. Kigambibwa nti bano nga bakolagana ne Commissioner wamu n’abalala abatanakwatibwa bekobaana nebakola ebyapa ebippya ku kyapa ekiriwo ekikadde nga kiri mu mannya ga Madhvani Group ekyafulumizibwa mu 1955 nga befudde aberula ensalo nebatwaliramu yiika endala 600 eziri ku FRV 60 folio 4 ku kyalo Musongole, mu Gombolola y’e Mpenja, mu Disitulikiti ly’e Gomba. Bano bezza ettaka lino nebagattako okwonoona essamba y’emmwaanyi wamu n’ekibira ebyali biweza yiika 540.
Kkooti eyisizza ebiwandiiko bakuntumye okukwata Deputy RDC Gomba, Sitenda Nicodemus Mugalu, physical planner, Mugenyi Vicent n’omusuubuzi Fred Kirenga.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply