zaake awabudde abagagga abalwanagana

Omubaka akiikirira Mityana Municipality mu Palamenti MP Zaake Francis Butebi awabudde abagagga b’e Mityana abalwanagana okutuula ku meeza emu bagonjoole ensonga zaabwe okusinga okudda mu kwerumaluma.Zaake okwogera kiddiridde abasuubuzi ab’enjawulo e Mityana okujja nga bakwatibwa ku byekuusa ku butakaanya wakati w’abagagga okuli Kiyimba Freeman, Francis Butebi kitaawe w’omubaka ono n’abagagga abalala okuva e Mityana nga kigambibwa nti obutakaanya buva ku mirimu. Zaake agamba nti ensonga z’abagagga bano zifuuse ekizibu mu kitundu ky’akiikira olw’ensonga nti abantu bangi bazze bakwatibwa ku byekuusa kunsonga zino ate oba oli awo nga tebazirinaako kakwate.Ono agamba nti abagagga abalwanagana bantu baakitiibwa mu Buganda era nga balina okubeera eky’okulabirako eri abalala nga n’olwekyo wadde nga balina obutakkaanya balina okutuula bagonjoole ensonga zaabwe okusinga okusigala nga baanika obuziina bwabwe ku banga bwebaali bakkaanya okusooka tebaali mulujudde.Zaake wano weyasabidde abakulu okuva mu Buganda beera wakati w’abagagga bano okulaba nga batuuka ku nteseganya okusobola okumalawo okunyigirizibwa okuliwo mu bantu b’e Mityana olw’okutya okukwatibwa awatali nsonga olw’abagagga balwanagana.Wabula Zaake era yategeezezza nti singa bano banaalemwa okukkiriziganya yandiwalirizibwa okutwala enosonga zino mu Palamenti okugezaako okulwanirira abantu abalala abazze bakwatibwa mu nsonga zino ate nga tebaziranaako kakwate konna.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
bakutte abaana 7 e burundi lwakuzanyira ku kifaananyi kya pulezidenti