Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 130 listening Simba FM Live

Obwakabaka bukungubagidde omusawo w’abazannyi b’omupiira eyafiiridde mu kabenje

October 31, 2022 · Mubiru Ali
Obwakabaka bukungubagidde omusawo w’abazannyi b’omupiira eyafiiridde mu kabenje.
Dr. Terric Kinene, eyaliko omusawo w’abazannyi b’empaka z’Amasaza ku FUFA Technical Centre, e Njeru, ttiimu ya Ssingo ne Vpers Sports Club, yafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Mbarara.
Ku lw’Obwakabaka, Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, Minisita w’Abavubuka, Emizannyo, n’Okwewummuza, agambye nti Dr. Terric abadde aweereza mu ngeri ey’obukugu, obumalirivu, n’okwagala, kuba bangi abasoma obusawo bw’okujjanjaba abazannyi, babuddukamu.
Dr. Terric aziikiddwa leero mu Bulo, e Butambala.