Wenger asiimiddwa George Weah

Eyaliko emunyenye ya Liberia ne Arsenal mu mupiira, George Weah nga kati ye President wa Liberia avuddeyo natendereza eyali Manager wa Arsenal Arsène Wenger, bweyabadde amuwa omuddaali nga guno gwegusinga ekitiibwa mu Liberia ogwa “The Knight Grand Commander of the Humane Order of African Redemption.”

George Weah yagambye nti; “Weyoleka era n’okakasa nti ddala oli musomesa eyaleeta enkyukyuka mu mupiira nga otumbula ebitone ebito okwetoloola ensi yonna naddala olukalu lw’omuddugavu.”

Omukolo guno gwabadde mu kibuga Monrovia awabadde ebikumi n’ebikumi by’abantu mu kisaawe kya Samuel Kanyon Doe Sports Complex. N’omutendesi Claude Le Roy nga ono yeyasooka okutegeeza Wenger ku muzannyi ono George Weah naye yasiimiddwa n’ekirabo.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

64 4 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw'amazaalibwa olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw`amazaalibwa olulungi. ...

8 0 instagram icon