Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 307 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Bbanka enkulu eriyiridde sudhir obukadde 300

April 1, 2019 · Mubiru Ali

Bank ya Yuganda enkulu evuddeyo nesasula omugagga Sudhir Ruparelia obukadde 300 nga ekitundu ku nsimbi ez’okumuliyirira mu musango gweyawaba nga agamba nti teyaddisibwa nsimbi ze eza layisinsi oluvannyuma lwa Bank enkulu okuggalawo ebibanda bye eby’ensimbi 4 emyaka ebiri egiyise.

Mukiwandiiko kya Kkooti ekyateekebwako omukono Omumyuka wa Gavana wa Bank Enkulu Dr. Louis Kasekende ne Sudhir kiraga nti Bank enkulu yali yakumusasula mu naku 21 nga kyabagibwa nga 19 – Dec – 2018.

Ebibanda byagalibwawo nga Bank enkulu egamba nti tebyali mu mbeera nnungi era nga tebisaana kukola mulimu guno. Ebibanda ebyagalwawo kuliko; Crane Forex Bureau (Speke Hotel), Crane Forex Bureau (Kampala Road), StanHope Forex Bureau De Change ne Red Fox Bureau De Change.

Oluvannyuma lw’okusasulwa, Ruparelia yalagidde Bannamateeka be aba Magna Advocates, okussaayo okusaba okuliyirirwa ensimbi zeyafiirwa oluvannyuma lw’okuggalawo ebiabanda bino.