Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 217 listening Simba FM Live

Eggye lya UPDF lirongoosezza ekibuga ky’e Sironko

January 31, 2022 · Mubiru Ali
Eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF olwaleero lyegasse ku batuuze, abakulembeze wamu n’abayizi okulongoosa enguudo za Sironko Town Council.
Gino gyegimu ku mirimu egikoleddwa nga eggye lyeteekerateera okukuza olunaku lwa Tarehe Sita olwa 41.
Ms. Patience Wibule, Resident District Commissioner wa Disitulikiti y’e Sironko ategeezezza nga kino ekikoleddwa bwekisembezza abantu n’eggye lya UPDF.
Ye Mmeeya wa Sironko Town Council, Her Worship Gertrude Khaukha Natseli, ku lwabatuuze ategeezezza nga bwebasiimye ennyo eggye lya UPDF olw’emirimu gyerikoze mu Disutulikiti.
Lt Col Lydia Nandudu, UPDF co-ordinator ow’emirimu gya Tarehe Sita egya 41 mu Disitulikiti y’e Sironko yeebazizza abakulembeze, abasomesa n’abatuuze olwokukwasiza awamu ne UPDF okukuza olunaku lwa Tatehe Sita.