Tetugenda kudda mu maaso g’omulamuzi Baguma – Bannamateeka ba Besigye
Bannamateeka ba Rtd Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya bavuddeyo nebakomba kwebaza eriibwa nti kikafuuwe okudda mu maaso g’Omulamuzi Emmanuel Baguma gwebalumiriza okubeera nekyekubiira mu musango gwabantu baabwe.
Bano bategeezezza nti singa abantu baabwe balabibwako mu maaso g’omulamuzi ono bajja kuba bawambiddwa buwambibwa. Bagamba nti lwaki bazzibweeyo mu Kkooti e Nakawa oba eya ICD.
Bya Kamali James

