Temunziikanga nga Ekereziya tebawadde kyapa kyange – Omugenzi Thereza
Waliwo Famire ekyatubidde n’omulambo gw’omuntu waabwe eyaleka ekiraamo ekikambwe ekyobutaziikibwa okutuusa nga Ekereziya Katolika ebawadde ekyapa kye kyeyagiteresa. Maria Thereza Nakibuuka 95, ngabadde mutuuze ku kyalo Nakuwadde Bbira-Lubanyi mu Disitulikiti y’e Wakiso migambibwa nti bweyali atandise okunafuwa emyaka 10 egiyise nga mu nnyumba abeeramu bwomu yekengera abayinza okumuyigirira nebabba ebiwandiiko bye kwekusalawo okuteresa Ekyapa kye akiterese Ekereziya ya Nakulabye Catholic Parish wabula kyamubuukako okukitegeerako nti ekyapa kye kyakyuusibwa okuva mu mannya gge nekizzibwa mu ga Ekereziya.
Omukulu w’Ekika kya Nyonyi Namungoona, Richard Luswata Musajjakaawa, agamba nti babadde bagugulana ne Ekereziya okumala akabanga nga muzzukulu we abanja ekyapa kye wabula nga tebakimuwa.
Wabula, Rev Fr Richard Ssajjabi, chief executive officer wa Kampala Archdiocese Land Board, agamba nti Nakibuuka yawaayo ettaka lye eriweza yiika 1.4 eri Legion of Mary, ekitongole kya Ekereziya Katolika.

