Tebanzikirizza kwogera na mwami wange – Mukyala Twiine
Abebyokwerinda bafuuzizza ennyumba yeyali omwogezi w’Ekitongole kyabambega Charles Twine agasangibwa e Kasangati.
Twiine, abadde amaze enaku nga tamanyiddwa gyali okuva lweyayitibwa okugenda ku kitebe kya Uganda Police Force e Naguru yazzeemu okulabwako mu maka ge ngawerekeddwako abebyokwerinda ababadde mu ngoye ezabulijjo wamu naba counter-terrorism. Mukyala we Kate Kabagenyi, agamba nti tewali kintu kyonna kyatwaliddwa nti era yadde yamulabyeeko naye tebamukirizza kwogerako naye.
#ffemmwemmweffe

