Taata azaalira Katikkiro Omukyala aziikwa leero e Bukomansimbi
Katikkiro Charles Peter Mayiga ali Kawoko, Bukomansimbi mu Buddu ewagenda okuziikibwa Taata amuzaalira mukyala we, omugenzi Eldard Medard Walakira.
Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika akulembeddemu bonna abavudde mu Bwakabaka bwa Buganda okwetaba mu kusiibula omugenzi.
Omulabirizi wa West Buganda Rt. Rev. Guster Nsereko y’akulembeddemu okusaba kw’okuwerekera omugenzi.
#ffemmwemmweffe

