Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 117 listening Simba FM Live
News

Eyakubye eyamuleeta e Kampala bamusibye emyaka 2

May 16, 2025 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asalidde Hakim Mugisha 35, ekibonerezo kyakusibwa emyaka 2 lwakukuba kiziibwe we Faridah Namugga namulumya bwebafuna obutakaanya ku dduuka lye olunaku lweggulo nga 15 – May 2025 ku ssaawa kumi ezolweggulo ku Qualicel Plaza e Nabugabo mu Kampala.
Mugisha akirizza omusango era Omulamuzi Kayizzi bwabadde amuwa ekibonerezo ategeezezza nti ono yadde abadde tazzanga ku musango era nga alina ne famire eyokulabirira nti wabula yazza omusango ogwamaanyi bweyakuba namugga ebikonde namuleetako n’ebiwundu mu kyenyi so nga Namugga yeyaleeta Mugisha ku kibuga okuva mu kyalo nga yewuunyizza omuntu atasiima ngono.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Mugisha yakubye Namugga ebikonde ebyamutuusizza n’okuzirika era naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka. Mugisha bwabadde mu Kkooti yetondedde Namugga eya neyejjusa olwebikolwa bye wabula nategeeza nti kyamunyiizizza nnyo okumuyita omubbi ngatalina bukakafu. Omulamuzi amutegeezezza nti alina eddembe okujjulira bwaba tasiimye nsala ya Kkooti.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe