Ssentebe wa NRM atiddwa Entebe

Eric Kyeyune, omuvuzi wa booda booda era nga ye Ssentebe wa

National Resistance Movement – NRM

owa Kitubulu Katabi akubiddwa essasi erimutiddewo abasirikale abagambibwa okubeera aba SFC bwebakubue amasasi mu bantu ababadde bekalakaasa ku Central Market Entebe ne ku Wakiso Tally Centre. Abantu abalala 5 balumiziddwa byansusso.

Okwekalakaasa nga kukulembeddwamu aba NRM ne

Democratic Party Uganda

kutandise enkya yaleero Entebe ne Wakiso ku Kitebe kya Disitulikiti oluvannyuma lwakulira ebyokulonda okulangirira eysimbyeewo ku bwa namunigina Fabrice Rulinda nti yawangudde obwa Meeya.

Abamtu bagamba nti ku ssaawa nukaaga ogwekiro Rulinda yabadde mu kyakusatu n’obululu 2,825 emabega wa Munnakibiina kya NRM Kabwama Mutebi abadde n’obululu 5,257 ate ye owa DP Kayanja De Paul abadde nobululu 5,672.
Wabula bagamba bewuunyizza Returning Officer abadde akuumwa amaggye Tolbert Musinguzi okulangirira Rulinda.

Leave a Reply