Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Poliisi ekutte 5 abagambibwa okwenyigira mu bubbi e Kawempe

March 17, 2021 · Mubiru Ali
MWE MUSUZA ABANTU KU TEBUUKYE MU KAWEMPE;
Omumyuuka w’omwogezi wa

Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kawempe ekutte abantu 5 kubigambibwa nti babadde benyigira mu bubbi mu Kawempe n’ebitundu ebirinaanyeewo. Abasirikale ba Poliisi ababadde balawuna ekyalo bebayimirizza emotoka ekika kya Passo Nnamba UBH 295F eyabadde evugibwa Michael Yiga, 28, nga Makanika. Ku dashboard y’emotoka kwabaddeko enkofiira y’eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF era Yiga bweyabuuziddwa nategeeza nti yannannyini w’emotoka eno.
Yiga yabatutte ewa Ronald Ssenyonjo nga yennanyini motoka eyategeezezza nti enkofiira si yiye wabula nti emotoka alina abamaggye babiri batera okupangisa emotoka eno nga kirabika bebagyerabiddemu. Ono yabatutte gyebali nga omu kubbo ye Kanyehamye Kakistone, agambibwa okudduka mu maggye ne Juma Kaya, nga ekyomukisa bombi babadde bagenze ku Poliisi y’e Kanyanya okubaako gwebeyimirira nga kigambibwa nti yabbye akakadde kamu n’essimu ekika kya Infinix.
Oluvannyuma kyazuuliddwa nti Kanyehamye ne Kaya, wamu negwebabadde bazze okweyimirira babba bonna era nebalagira bagenda baaze gyebasula.
Mukukebera ennyumba zaabwe abasirikale basanzeemu ebintu ebigambibwa okubeera ebibbe wamu n’ebyambalo by’amaggye.