Ssekikubo amaze n’alabikako ku CID e Kibuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka mu Palamenti owa Lwemiyaga ,  Theodore Ssekikubo alabiseeko ku kitebe kya Police ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli  mu ttuntu lya leero. 

Ssekikubo yalemererwa okulabikako ku kitebe kino ssabbiiti ewedde era ategeezezza nti yali tasobola kulabikako kubanga yalina ebirala byakola.

Agamba nti tagenda kukyusa mu kigambo kye oky’okusimbira ekkuuli ennongoosereza mu Ssemateeka ku kuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ssekikubo awerekeddwako omubaka Omubaka Medard Lubega Ssegona era nga ye Puliida w’aboludda oluvuganya Gavumenti wabula tebasanzeewo Ofiisa yenna avunaanyizibwa ku nsonga zino era nebeerayirira obutaddayo!

Share.

Leave A Reply