BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Basse omutuuze mu ntiisa

Entiisa ebutikidde abatuuze be Rakai  ku kyalo Lwanda mu Lwanda Zone B bwebasanze omulambo gw’omusajja ategerekese nti ye Lutaaya Peter 42 nga attiddwa mu bukambwe. Peter nga abadde musuubuzi wa mwanyi era nga abadde mutuuze ku kyaalo Bulongo mu muluka gw’e Buyamba mu ggombolola y’omu Ddwaniro.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti ono oluvannyuma lw’okutunda emwannyi ze yayitiddeko mu bbaala emu e Lwanda era nga bweyamaze okunywa omwenge yasasudde nasalawo adde ewuwe, wabula yateegeddwa abantu abatanategerekeka nga kirowoozebwa nti bamulabye ne ssente nebamukuba omutwe nebagwasa era nga omulambo gwe gusangiddwa nga gugalamye mukitaba ky’omusayi.

Mukisera kino Poliisi ekutte abantu basatu nga bano kigambibwa nti babadde naye nga atunda emwanyi era nga balabiddwako naye mu bbaala. Ku bano kuliko; Matovu George, Kalwanyi Simon ne Natukunda Deborah nga ono abadde muganzi wa Peter. Lameck agamba nti Kalwanyi Simon Poliisi emusanze ne Million bbiri (2,000,000/=) zalemeddwa okunnyonyola wa gyeyazijje.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply