Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naweereza Obuganda obubaka bwa Eid El-Fitr 2026.
🗳️ Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza Obuganda obubaka bwa Eid El-Fitr 2026.
Mu bubaka bwe, Beene akubirizza abantu be okwegayirira ennyo Allah n’okumussaamu ekitiibwa, n’akuutira abakulembeze abaalondeddwa mu bifo eby’enjawulo okutuukiriza ebyo byebaasuubizza abantu nga banoonya akalulu.
Mu ngeri yeemu Omutanda akubirizza Abavubuka okukozesa obulungi omukutu gwa Tik Tok nga bawa abantu amawulire amatuufu n’okusomesezaako ebintu ebizimba ng’Eddiini, ennima ey’omulembe n’ebirala.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

