Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Ssaabalamuzi Bart Katureebe awumudde mu butongole

Ssaabalamuzi Bart Katureebe olunaku olwaleero awaddeyo offiisi eri Omumyuuka we Alphonse Owiny Dollo oluvannyuma lw’okuwummula nga awezezza emyaka 70 wiiki ewedde ku lw’okutaano.
Bwabadde awaayo offisi asiimye bonna babadde akola nabo emyaka 5 gyamaze mu kifo kya Ssaabalamuzi bweyaddira CJ Emeritus Benjamin Odoki mu bigere.
Ono anajjukirwa mukubeera omusaale mu kutandikawo enkola ya tekinologiya mukuwozesa abasibe nga basinziira mu makomera gyebali, obuwanguzi bwa Pulezidenti okuteeka omukono ku bbago lya Judicial Administration okufuuka etteeka wamu n’okutema evvuunike awagenda okuzimbibwa amaka ga Kkooti ensukulumu, Kkooti ya Ssemateeka ne Kkooti ejjulirwamu.
Ye D/CJ Owiny Dollo nga ali mu lwokaano n’abalala babiri kwebalina okulonda Ssaabalamuzi asabye emyaka gyabalamuzi ba Kkooti ejjulirwamu n’ensukulumu kwebawummulira okwongezebwayo gyeve ku 70 okudda ku 75 nga agamba nti ku myaka 70 babeera bongedde ku magezi n’obumanyirivu nti era emyaka 70 gisigaleyo ku Principal Judje, Chief Justice, ne Deputy Chief Justice.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort