Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,135 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Balaam tewandibadde ggwe – Bawagizi ba Chameleone

April 15, 2020 · Mubiru Ali

#Wolokoso; Omukulu Balaam Barugahara yavuddeyo ku kyabaddewo wakati wa Jose Chameleone wamu n’abekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) nga basika emotoka ye nawabula Bannayuganda; “Bannayuganda banange mbasaba tuwe abasajja n’abakyala abo ababeera ku mirimu nga batuuse obuweereza eri eggwanga. Bano si baddu baffe wabula batuusa buweereza.Enkola ey’okubayisaamu amaaso egenda yeyongera mu ggwanga ekitali kirungi. Buli lw’obasanga bayise bulungi, kuba byonna byetweyagaliramu nga ebyokwerinda, enguudo ennungi, eddagala mu malwaliro, emisaala n’ebirala biri bityo kuba bbo. Tuwe ekitiibwa abakungaanya omusolo, Abasirikale ba Poliisi, Abasawo, Abamaggye, abalongoosa enguudo, abakwasisa amateeka, abasomesa n’abalala. Tuwangane ekitiibwa ffenna.”Wabula Barugahara Balaam Ateenyi tebyamugendede bulungi oluvannyuma lw’akatambi akakwatiddwa nga emotoka ya Chameleone esikibwa okuva mu makaage, kigambibwa mbu yawuliddwa mu katambi kano nga alagira eyabadde akwata video akwate bulungi ebifaananyi alabe oba nga ddala Chameloene bamukutte nga bweyabadde abalagidde. Abantu bavuddeyo nebamulangira obunnanfuusi, nti era yandibadde takikola Chameleone munywanyi we!