Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 218 listening Simba FM Live

KCCA efulumizza ensalo booda booda wezitalina kusukka

July 26, 2020 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kamapala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA kivuddeyo nekitegeeza nga Ministry of Works and Transport-Uganda wamu ne Ministry of Security bwezivuddeyo n’ebiragiro naddala eby’ekibuga Kamapala ku Booda booda nga abavuzi baazo balina okubigoberera;
Booda booda zonna zirina okukolera ku siteegi eziteekeddwawo era nga buli Siteegi erina reference code nga ly’erinnya lyayo.
Booda booda zonna zirina okuwandiisibwa ku siteegi ezteekeddwawo. Aba Booda booda baddembe okwewandiisiza ku siteegi yonna gyebaagala.
Kkampuni zonna eza Booda booda eza App zirina okuwaayo register eziraga ba Mmemba bonna oluvannyuma lw’okubawandiisa ku siteegi eziteereddwawo.
Booda booda zonna ezitali mu kkampuni ezikozesa app balina okwewandiisa ne KCCA nga bayita mu bakulembeze baabwe.
Teri wa Booda Booda alina kusasula okwewandiisa ku siteegi yonna gyayagala era oyo yenna asaba ssente mumuwaabire.
Cabinet yayisizza ebifo ebitalina kutuukamu Booda booda nga ensalo ziri ku Wampewo Roundabout- Jinja Road okutuuka ku Kitgum House junction – Access Road – Mukwano Road to Clock Tower –Kafumbe Mukasa Road –Kisenyi Road –Mackay Road- Kyaggwe Road- Watoto Church-Bombo Road – Wandegeya – Hajji Musa Kasule Road- Mulago roundabout- Kamwokya junction – Sturrock Road – Prince Charles Drive- Lugogo Bypass–Jinja Road- Wampewo Roundabout.