Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo yavuddeyo mu lumbe lwabadde Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah nagamba nti abo Bannayuganda abavaayo nebakalakaasa mu Seattle nga bawakanya ekyokumutwala afune obujanjabi kyebakola bwekiri ekibi ennyo, ono yayongedde neyebuuza wa gyebaali nga Omukulembeze waabwe ow’Enono atwalibwa e Bugirimaani mu nnyonyi ya Pulezidenti. Yayongeddeko nti kino bakikola olwokuba Oulanyah tayogera lulimi lwabwe!
Wabula Bannayuganda bavudde enfunda eziwera nebekalakaasa olw’abakungu ba Gavumenti ababa bagenze e Bulaaya okugeza bekaalakaasa ku Betty Kamya ne Ronald Kibuule.
Mu bifaananyi bya Ssaabasajja ngayanirizibwa e Bugirimaani ku kisaawe tulaba nti yali ava ku nnyonyi ya KLM.