SID e Kireka ekyaliwo okuweereza Bannayuganda – CP Enanga

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa ku ‘social media’ nti ekitongole kya Special Investigations Division(SID) e Kireka kigaddwa. Ono ategeezezza nti SID kitongole kya Directorate of Criminal Investigations e Kibuli nti era kyateekebwawo mu mateeka era nekikirizibwa okubeera mu bukulembeze bwa Poliisi mu Public Service.
Agamba nti tewali nteekateeka yonna yakugalawo kitongole kino nti era tewanabaawo alipoota yonna ewabula nti kiggalwewo. Akakasizza nti SID ekyaliwo era etambuza emirimu gyayo bulungi ngetuusa ku Bannayuganda obuweereza.
Asabye abolupapula lwa The New Vision okuwanulayo tweet ewubisa abantu gyebakoze era nabasaba okusooka nga okwekeneenya amawulire nga tebanagafulumya.
Share.

Leave A Reply