SAMIA SULUHU YE PULEZIDENTI OMUKYALA ASOOSE MU E.A

Pinterest LinkedIn Tumblr +
SAMIA SULUHU YE PULEZIDENTI OMUKYALA ASOOSE MU E.A;
Nga Tanzania ekyakungubagira okufa kwa Pulezidenti Dr. John Pombe Joseph Magufuli 61, eyafudde olunaku lweggulo ku lwokusatu nga 17-March-2021 mu Ddwaliro lya Mzena Hospital mu Dar es Salaam, okusinziira ku Ssemateeka abadde omumyuuka we Samia Suluhu Hassan yalina okulayizibwa mu ssaawa 24 nga Pulezidenti wa Tanzania okumalayo ekisanja ekiggwako mu 2025.
Okusinziira ku kawayiro 37(5) aka Ssemateeka wa Tanzania; Samia Suluhu Hassan nga Pulezidenti, wakwebuuza ku kibiina ekiri mu buyinza kya CCM ani gwaba alonda ku kifo kyomumyuuka we.
 
Akawayiro 37(5) kagamba; Ekifo kya Pulezidenti kifuuka ekikalu singa Pulezidenti aliko afa, alekulira, aba talina bisaanyizo bimuteeka mu offiisi eyo oba alemererwa okutuukiriza emirimu gye olwobulemu oba mu ngeri yonna nga Pulezidenti, olwo omumyuuka we ajja kulayizibwa nga Pulezidenti amaleyo ebbanga erinaaba lisigaddeyo ku kisanja ekyo. Era mu ngeri yemu nga agoberera akawayiro 40, nga amaze okwebuuza ku Kibiina kyavaamu wakulonda omuntu anabeera omumyuuka we era nga oyo alondeddwa wakukakasibwa National Assembly nga balonda obululu obutakka wansi wa bitundu 50 ku 100 obwababaka ba Palamenti.
Share.

Leave A Reply