Ab’ebijambiya batemye 4 e Lwengo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab’ebijambiya bazzeemu okutema abantu e Lwengo.
Bano balumbye ekyalo Kantungamye mu Gombolola y’e kingo mu disitulikiti ye Lwengo ne batema abantu 4 omu n’afirawo 3 ne babaleka nga bataawa.
Ettemu lino libaddewo mu kiro ekyakeeseza olwa Sunday era nga muzeeyi Atanansi Kamulegeya 60 tasobodde kusimatuka bijjambiya ebyamutemeddwa ku mutwe, amaggulu, n’emikono. Abalala abatemeddwa kuliko Ronald Katumba, Steven Mulumba ne Namukadde Nalubowa Ntoni.

 

Share.

Leave A Reply