REBECCA KADAGA YALABISEEKO MU LUKIIKO LWA CEC ENTEBE

Pinterest LinkedIn Tumblr +
https://youtu.be/UPg2gYBYI9c
Abadde Sipiila wa Palamenti eye 10 Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga olunaku lw’eggulo yalabiseeko mu Lukiiko lwa Akakiiko akokuntikko aka National Resistance Movement – NRM aka CEC akabadde mu maka gobwa Pulezidenti Entebe.
Wadde nga yamenya etteeka ly’ekibiina neyesimbawo ku lulwe wadde nga ekibiina kyali kironze Jacob Oulanyah, Kadaga yabaddewo mu Lukiiko yadde ngabasinga babadde balowooza nti tajja kubeerawo.
Kadaga yatuuse bukyali era natuula mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Bammemba bamwanirize nga bwebamugumya owlokuwangulwa.
Olukiiko lwatudde okumaliriza enteekateeka y’abantu abalina okulondebwa ku Bukiiko bwa Palamenti obw’enjawulo wadde nga Ruth Nankabirwa ye akyakalambidde nti Kadaga alina okwetondera Pulezidenti Museveni ne NRM.
Pulezidenti Museveni yategeezezza CEC nti ekifo kya Kadaga kikyaliwo mu Kabineti wabula nga omumyuuka wa Pulezidenti era olukiiko gyerwagweredde nga Kadaga bamukubira emizira ekiraga nti yandiba nga azze mu kintu.

facebook likes kaufen

Share.

Leave A Reply