Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 92 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Abakulembeze b’ennono basabiddwa okuteeka Gavumenti ku nninga okuta Omumbere mangu

November 30, 2016 · Mubiru Ali

Abakulembeze b’ennono mu ggwanga lyattu Yuganda basabiddwa okwegatta ekitole okuvaayo n’eddoboozi limu  okuteeka akazito ku Gavumenti esobole okuyimbula Omusinga w’ Obusinga bwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere mu bwangu ddala awatali kakkwakkulizo konna.

Okusaba kuno kukoleddwa Omubaka mu Palamenti akulira oludda oluvuganya Gavumenti Winnie Kiiza nga okwogera abino asinzidde Jinja eri ekkomera Omumbere gyeyasindikiddwa ku alimanda ku misango gy’obutemu.

Omumbere yaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi omukulu mu kkoti e Jinja , John Francis Kaggwa era n’aggulwako omusango gw’okutta Omupoliisi , Geofrey Kasimba eyattibwa mu Mugulansigo w’omwaka guno e Kasese.